Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye n’ayogerako eri Obuganda ku ssaawa kkumi z’ennyini ez’emisana ku mukutu ogwa 88.8 CBS FM.
Omutanda ng’asinziira mu ggwanga lya Namibia, agambye nti akyali ku biragiro by’abasawo eby’okuwummulako n’okujanjabivwa, era ebyamuggya ku mirimu egisiinga obungi.
“Embeera y’obulamu bwaffe egenda etereera era tusuubira okudda ku butaka mu budde obutali bwewala nnyo”.
Yebazizza Obuganda olw’essaala zonna ezimuweerezebwa entakera,n’obutaggwamu ssuubi mu mbeera zonna ezibasoomooza.