” Ssente emmese zeyampa nga nkudde erinnyo, nnaguliramu Kabaka Ffirimbi ng’ekirabo ky’amazaalibwa…”
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye musaayi muto Mubiru Dominic Luther ow’emyaka 5 eyamuwandiikira ebbaluwa okumuyozaayoza okutuuka ku mazaalibwa ge ag’emyaka 70, n’amuweereza n’amakula ga Ffirimbi ayongere okukoowoola abantu be obutabongoota.
Mu bbaluwa eyanukula omuto ono, Beene yennyini gyataddeko omukono gwe, amwebazizza olw’ekirabo kya Ffirimbi kyeyamuweereza okujjukiza abantu obutabongoota.
Ssaabasajja yeebazizza abazadde ba Mubiru abamukuzizza obulungi ate n’abasomesa be ku ssomero gyasomera abamuyigiriza okusoma n’okuwandiika.
Mubiru Dominic Luther agamba nti Amakula ga Ffirimbi gyeyaweereza Kabaka ku lw’amazaalibwa ge, yagigula mu ssente “emmese” zeyamuwa ng’akudde erinnyo lye.
Ebbaluwa ya Mubiru Ssaabasajja agiyisizza mu jjajja mwami awangaala naye gw’abeera naye Owek.Henry Kanyike omukiise mu lukiiko lwa Buganda.
Jjajja mukyala Florence Kanyike, alabirira Mubiru e Kiteezi Kyaddondo, agamba nti muzzukulu waabwe ono ayagala nnyo Ssaabasajja nga kino yakiraga amangu ddala ng’akyajje atandike okwogera, nti era azze yeetaba ne mu misinde gy’amazaalibwa ge wadde ng’addukira mu luggya awaka mu mujoozi.
Agambye nti Mubiru tebamanyi gyeyaggya kirowoozo kya kuwandiikira Ssaabasajja naye baali bali awo ng’awandiise bwatyo, n’asaba jjajja mwami (Owek. Kanyike) atuuse ebbaluwa ye ewa Katikkiro, agituuse ewa Beene.
Atutegeezezza nti baali baali awo ng’abafunye essimu okuva mu woofiisi ya Kabaka ng’asiimye okubasisinkana mu Bulange e Mengo.
Olwaleero nga 20 May,2025, ebbaluwa emusiima emukwasiddwa omuwandiisi wa Kabaka Omuk.DD Mukiibi
Mu ngeri yeemu Mubiru bw’abadde azze embuga okunona obubaka bwe, azze n’amakula, aleese ekiteretebbu kya Woovakkedo.