Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ll alagidde abantube okukozesa ensiisira zÉbyobulamu ezitegeekebwa mu masaza agenjawulo okwekebeza n’okwejjanjaba endwadde ezenjawulo babeere balamu.
Obubaka Ssaabasajja abutisse Omulangira David Kintu Wassajja, mu kutongoza olusiisira lw’Ebyobulamu olutegekeddwa Kabaka Foundation.
Olusiisira lwakumala ennaku 2 mu kisawe e Wankulukuku, nga 06 ne 07 May,2025.
Beene agambye nti ensiisira zino zakwongera okubunyisibwa mu bitundu bya Buganda byonna, naalagira abantube okuzettanira.
Ssaabasajja ajjukiza abantu okwongera okwekebeza wamu n’okwekuma obulwadde bwa Mukenenya, era yeebazizza Bannaddiini nÁbasawo abakola emirimu amakula mu Nsiisira zino.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asinzidde ku mukolo guno naasaba abantu ba Kabaka okwettanira abasawo abakugu okubakebera okumanya webayimiridde, era naabakuutira okujumbira enkola eya Duyiro.
Bishop Henry Katumba Tamale amyuuka Ssentebbe w’Olukiiko olufuzi olwa Kabaka Foundation, ategeezezza nti bakwongera okutwala mu maaso ekiragiro kya Kabaka ekyÓkukuuma Abantube nga balamu bulungi ku lwÉnkulaakulana eya nnamaddala.
Super Supreme Mufti Shake Muhammad Galabuzi asabye Obwakabaka okuyamba Abasawo okwongera okufuna obukugu obwenjawulo, mu mbeera yeemu naasaba government ya wakati okuteekawo enteekateeka esobozesa Abasawo okukola emirimu gyabwe obulunji nga basasulwa mu budde.
Omubaka wa Papa eyawumula Ssabasumba Augustin Kasujja agambye nti banna Uganda betaaga okutwalibwa ekyenkanyi ku nsonga y’Okufuna obujjanjabi, nga kyeyolekera mu kubunyisa eddagala nébyuuma ebyomulembe mu malwaliro gonna.
Minister wÉbyobulamu mu Bwakabaka Owek Cotlida Nakatte Kikomeko Yeyanziza Ssabasajja okusosowaza ebyobulamu mu kitongole kye, era nawera nti nga ministry sibakussa mukono mukukuma abantube nga balamu bulunji.
Abantu ba Ssabasajja baakujjanjabwa nÓkukeberwa endwadde ezenjawulo omuli Kookolo ,Akawuka akaleeta Mukenenya ,Omusujja mu Baana ,Amagumba ,Ssukaali ,Okukebera Nalubiri ,okukebera Abakyala bÉmbuto n’Endwadde endala nyingi.
Bisakiddwa Kato Denis ne Nakato Janefer