Pikipiki ezimanyiddwa nga sports bike etomede omwana abadde asala ekubbo neemuttirawo e Mpererwe mu Kampala.
Akabenje kano kagudewo ku saawa mukaaga ez’ettuntu nga 06 May,2026,omuzadde bw’abadde asala ekubbo n’abaana be babiri,wabula pikipiki ebadde ewenyuuka obuweewo neemutomera neemuttirawo.
Abadde avuga pikipiki eno sports Bike naye emukubye ku ttaka, police egenze okumukwata okumugya ku bantu ababadde bataamye obugo naye nga liko kikuba mukono.
Aberabiddeko nti entiisa eno egwawo, bagambye nti pikipiki eno ebadde ewenyuuka buweewo, mu ngeri y’okugiboonga kwekutomera abadde wakati w’e myaka nga 8 ne 10.#
Bisakiddwa: Lukenge Sharif










