Spain esitukidde mu kikopo kya UEFA Euro 2024 ekubye Bungereza ggoolo 2-1.
Ggoolo za Spain ziteebeddwa Nico William ne Mikel Oyarzabal ate eya Bungereza eteebeddwa Cole Palmer.
Lamine Yamal ow’emyaka 17 y’asitukidde mu ky’omuzannyi omuto asinze okukyanga akapiira mu Euro 2024.
Rodrigo Hernandez Cascante awangudde ekya MVP omuzannyi eyasinze banne okuzannya omupiira mu Euro 2024.
Kati Spain ewezezza ebikopo 4 ate Bungereza tewangulangako.#
Bikungaanyiziddwa: Kamoga Abduswabur