President w’ekibiina kya Rotary munsi yonna Dr. Stephanie Urchick atongozza ekyuma ekirala ekikuuma omusaayi mu tterekero lyagwo erisangibwa mu ddwaliro lya Mengo Hospital mu Kampala.
Rotary yazimba etterekero ly’omusaayi mu ddwaliro e Mengo, nesaamu ekyuma ekyasooka, kati yataddeyo ekirala okuyamba abagwetaaga okugufuna mu bwangu.
Omulabirizi we Namirembe Moses Banja ne banna Rotary abalala bangi betabye ku mukolo guno.
President wa Rotary yatuuka mu Uganda nga 5 January,2025, era ng’asuubirwa okwetaba ku mirimu egy’enjawulo, era nga akyaliddeko ne Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga.
Dr. Stephanie Urchick wakwetaba ne ku kyeggulo kya Rotary, Rotary Cancer Centre e Nsambya, Rotary WASH Institute e Nkumba, Peace Symposium and Capstone ku Makerere University ne Africa Peace Concert mu Nsambya Gardens, akulemberemu okutambula okw’emirembe (Peace Walk) okugenda okubeera e Makerere University ku lwomukaaga oluggya.#