President wa Uganda Gen. Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni,agambye nti government egenda kuleeta amateeka amaggya agoongera okukalubya embeera y’okusengula abantu ku ttaka, ngeemu ku nkola ey’okuyambako okulwanyisa ekibba ttaka ekisusse.
Abamu ku baazirwanako bamubuulidde nti basoomozebwa okusengulwa ku ttaka, nga nabakyenyigiramu abamu bakozi mu bitongole bya government, obubbi obwebisolo, obwavu nebirala.
Abadde ku kisaawe ky’ettendekero e Kaliiro mu district ye Lyantonde, ewategekeddwa emikolo egy’omulundi ogwa 36 egy’okujjukira abaazirwanako era abaaleeta government ya NRM mu buyinza (1981 -1986), n’abantu abalala abalina ebyenkizo byebakoze ku nkulaakulana y’eggwanga olwatuumwa olw’abazira ba Uganda.
President Museveni ng’ebigambo bye bibadde bivvunulwa omumyuka wa ssentebe wa NRM mu Buganda, Godfrey Kiwanda Ssuubi, agambye nti wakukwatagana nabakwatibwako ensonga, okubaako obukwakulizo naamateeka amalala gebayisa ku nsonga eno.
Agambye nti akooye ebyokuwulira abasengula abantu ku ttaka wadde nga baliguze mu mateeka, sso nga bebasengula babasanzeeko.
President Museveni mungeri yeemu alabudde banna Uganda okukomya okusalaasala mu ttaka obulele n’okulitunda, nti nakyo kiviiriddeko ebizibu bingi mu Uganda, era naasaba banna Uganda okwongera omutindo ku byebakola n’abalunzi okwesimbira omuddo mu kifo kyokulowooleza ku gwemeza gwokka obutakosebwa mu biseera ebyekyeeya.
Mungeri yeemu ku nsonga y’okubbi obukutte ejjembe mu Uganda, president agambye nti wabaddewo obunafu mu nkwatagana y’abakuuma ddembe n’abebyokwerinda abenjawulo, era nti aliko ebiragiro byeyayisizza mu bakuuma ddembe okukolagana naabantu ba bulijjo okumalawo ekizibu kino.
President asuubizza okukola enguudo mu bitundu bye Lyantonde, okubawa ebyuuma ebifukirira ebirime,nokwongera okukwasizakao abali mu bwetaavu bwebyuuma ebyokwekulakulanya.
Abaazirwanako nga bakulembeddwamu Ssalongo Kiggundu Kabandwa, ku lwa Hajji Ediriisa Ssedunga, ssentebe waabazirwanako mu kanyigo ke Luweero, mu alipoota gyasomye baasabye president okubayambako ku kizibu ky’ebbula ly’emirimu, ekibba ttaka nga nevvulugu omu akolebwa abakozi mu ministry y’ebyettaka, obubbi bw’Ente n’enkoko, ebyenjigiriza nebirala.
Minister w’ensonga zoobwa president Milly Babalanda, ategezezza nti government ekoze kinene okutumbula embeera z’abaazirwanko, era naasaba banna Uganda okukuuma emirembe mu kalulu ka 2026.
Wabula n’abazze bemulugunya nga baazirwanako nti tebafiiriddwako, abaganyulwa babeera balondemu.
Olunaku luno government erukuzizza omulundo ogwa 36, era president nga tanaba kwetaba ku bikujjuko ebikulu, yasoose kutongoza kijjukizo ky’abazirwanako mu town council ye Kaliiro, n’akisaako ekimuli ng’ali ne mukyala we era minister w’ebyenjigiriza n’ebyemizannyo Janet Kataha Museveni.
Emizinga 17 gyegikubiddwa okujjukira abo abafiira mu lutalo lwa NRA (1981-1986).
Abazira b’eggwanga 50 bebawereddwa emidaali, kubaddeko abakyala 9.
Abafunye emidaali kuliko omumyuka w’omuduumizi w’amagye era avunanyizibwa okulondoola eby’emirimu mu maggye Sam Emuli Okidingi awereddwa omudaali ogwa Kabalega Star Medal.
Munnamawulire, musiga nsimbi era omutandisi w’emikutu gyamawulire mu Uganda, William Pike, naabalala bawereddwa nabo emidaali okuli ogwa National Independence 60th Jubilee Medal, Long Service with good conduct medal, Nalubaale medal, Luweero Triangle Medal, Guarantee star medal of police, Masaaba Star Medal, Personal Sacrifice medal of police, Dam Medal oguweebwa abaafirwa mu lutalo era Sam Wamala okuva e Luweero yekka yagufunye.
Bisakiddwa: Ddungu Davis ne Kanwagi Baziwaane