President Yoweri Kaguta Museveni alagidde nti technology omuggya agenda okulondoola enkozesa y’ennyimba n’ebiyiiye ebyenjawulo ebya bannauganda atandike okussibwa mu nkola, asobozese bannyini biyiiye okwongera okufuna mu mirimu gyabwe.
Bituukiddwako mu nsisinkano ya president n’abakulembeze b’abayimbi abenjawulo abakulembeddwamu omuwabuzi wa president ku biyiiye Eddy Kenzo, minister omubeezi ow’ekikula ky’abantu Peace Mutuuzo, omumyuka wa Sipiika wa Parliament Thomas Tayebwa n’abalala ebadde e Lwamitula.
Technology agenda okukozesebwa okulondoola ebiyiiye yaluηamiddwa munnascience akolera mu wofiisi ya President Eng.Sheba Kyobutungi.
Mu nteekateeka eno, abayimbi n’abayiiya abalala baakuwandiisa ennyimba zabwe mu nkola etuumiddwa Copyright Management System, olwo etandike okulondoola emikutu okuli Radio, TV, ebbaala n’ebifo ebirala ebikozi by’ensimbi ebizannya ennyimba ezo.
Emikutu egyo gyakusasulanga ensimbi okuzannya ennyimba ezo, olwo nannyini luyimba asasulwe ensimbi ezija mu mirundi ennyimba ze gyezizannyiddwa.
Emikutu gy’amawulire, ebbaala n’ebifo ebirala ebikuba ennyimba z’abayimbi bannauganda byakusookanga kufuna Licence ebakkiriza okukuba ennyimba ezo, era nga bakusookanga kujisasulira.
Wabula president Museveni alagidde ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’empuliziganya okwongera okusomesa abakwatibwako ensonga eno bagitegeere, era nalagira ne police okulondoola abakuba ennyimba z’abayimbi nga tebalina lukusa.#