President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni atongozza enteekateeka y’okubunyisa amasanyalaze mu bitundu bya West Nile,agasuubirwa okwongera okukikulaakulanya.
President Museveni okutongoza amasanyalaze gano abadde ku mikolo egyategekeddwa minister omubeezi ow’ebyobugagga ebyomutaka Phionah Nyamutoro egy’okwebaza Katonda egibadde mu district ye Nebbi.
President alabudde abavubuka abagamba nti bakooye government ye, ate nga bw’abaleetera nteekateeka ez’enkulaakulana tebazenyigiramu, aba gambye nti bakusigala emabega.
Museveni agambye nti abavubuka bangi bakyaganye okukola nga befuula abato ,amagezi abawadde gabuwa bekolere bayimirizeewo obulamu.
President museveni abantu beeno bamusabye okubakolera enguudo,wabula mukubaanukula agambye nti enteekateeka z’okuzikola weziri, naye nti mu kadde kano amaanyi government ye egatadde mu kukulakulanya bantu ng’eyita mu nteekateeka ya Parish Development Model.
Minster Phionah Nyamutoro yebazizza omukulembeze we ggwanga olw’ekulakulana gyatuusizza mu bitundu bye Nebbi,nebyokwerinda byagambye nti kati bizaamu amaanyi.
Minister era ategeezezza president nti zzaabu mungi azuulidwa mu bitundu byabwe, era balowooza nti zaabu ono wakuyambako abantu babwe okwekulakulanya.#