President Yoweri Kaguta Museven alambuddeko ku kitebe kya Iran mu Uganda, okukungubagira abadde president wa Iran Seyed Ebrahim Raisi eyafiiridde mu kabenje k’ennyonyi.
President Museven amutenderezza ng’omukulembeze abadde alafuubanira enkulakuulana y’amawanga ga Asia,Africa, Latin America n’amawanga ga Bulaaya agettanira emirembe.

Awadde eky’okulabirako, nti President Raisi lweyagenyiwalako mu Uganda mu 2023, yalambula project ez’enjawulo ezaavujjirirwa Iran mu Uganda ku Old Kampala, omuli n’okulambula omuzikiti gw’abrnzikiriza y’abasiraamu Aba Sunni, wadde nga president Raisi abadde mu Shia.
Mu ngeri yeemu, abakulu ku kitebe ky’eggwanga lya Iran mu Uganda, baweze nti government yaabwe ssiyakukyusa mu nteekateeka zaayo, n’endagaano zeyakola ne Uganda wadde nga president w’eggwanga eryo Ebrahimi Raisi eyabadde azitandiseeko yafiiridde mu kabenje k’ennyonyi.
President wa Iran, H.E. Seyed Ebrahim Raisi, ne minister avunanyizibwa ku nsonga z’amawanga amalala, Hossein Amirabdollahian, baafiiridde mu kabenje k’ennyonyi ku biteeberezebwa nti obuzibu bwavudde ku mbeera y’abudde.
Mu ggwanga lya Iran abakulembeze baalangiridde okukungubaga kwakumala ennaku 5.
Okusinziira ku ssemateeka wa Iran, kyakubatwalira ennaku 50 zokka okutegeka akalulu okulonda omukulembeze omuggya, era nti okulonda kwakubaawo nga 28 omwezi ogujja ogwa June,2024.
Omubaka wa Iran mu Uganda, Amb Majid Saffar, bwabadde aggalawo omusomo gwa bannamawulire ku kitebe kya Iran, ekikola ku by’obuwangwa e Kololo mu Kampala, agambye nti omukulembeze waabwe omugenzi President Raisi, yakyalako wano mu Uganda naabako enkolagana zeyatandikawo ne government ya Uganda, omuli okukolaganira awamu mu by’obusuubuzi, obulambuzi n’ebyokwerinda era nti newankubadde yafudde tewali kigenda kusazibwamu.
Amb.Saffar, agambye nti noobubaka bwebafunye obubakubagiza okuva mu bakulembeze abenjawulo mu Uganda, bubayambye nnyo okwongera okumanya enkolagana gyebalina ne Uganda, nga n’omukulembeze w’eggwanga Gen Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni abakyaliddeko n’ayongera okubagumya.
Mu musomo ogubaddewo ku bannamawulire gyebakolamu emirimu gyabwe, gukulembeddwamu Dr. Aisha Nakiwala Ssembatya, akulira ebbanguliro lye by’amawulire e Makerere, era ono asabye bannamawulire okwongera obuyiiya nokwefumintiriza mu mpandiika y’amawulire naddala mu by’entalo ezaamawanga agenjawulo awatali kwekubiira luuyi.
Dr. Nakiwala agamba nti bannamawulire balina n’okufaayo ku nnonda y’ebigambo mu lulimi byebakozesa mu kukola amawulire, n’okufaayo ennyo ku byobulamu byabwe nga bakola amawulire.
Bisakiddwa: Ddungu Davis