Police ku kisaawe ky’e nnyonyi e Ntebbe etandise okunonyereza ku musirikale waayo agambibwa okuba nga yesse mu kiro ekikeesezza leero.
Omusirikale ono agambibwa okwetta ye Constable Nyeko Bosco Mwaka abadde akolera ku police yo ku kisaawe ky’ennyonyi e Ntebbe.
Okusinziira ku Amyuka omwogezi wa police mu Kampala n’e miriraano Luke Owesigire, omusirikale ono asangiddwa ne kiwundu ky’essasi eryakubiddwa mu ttama neriyitira ku mutwe,ekireese okuteebereza nti yandiba nga yeyesse.
Mu kiro ekikeesezza leero mu Barracks ya Police.
Omulambo gwa Nyeko gutwaliddwa mu Ddwaliro e Mulago okwongera okwekebejjebwa.