Police ye Kyotera ekutte taata Ssengooba Fulugyensio agambibwa okukkakana ku muwala we Nakalawa Kevin ow’emyaka 16, n’amukuba emiggo egyamuviiriddeko okufa.
Nakalawa Kevin abadde asoma S.2 ku ssomero lya St.Mary’s Ssanje e Kakuuto.
Kigambibwa nti ku lunaku lwa Wednesday nga 31 July,2024 omwana yava ewaka n’agenda mu town ye Kakuuto nti okusazisa ennyimba ku katambi, nga tagambye kitaawe, wabula n’akomawo ekiro ku ssaawa nga 4.
Taata w’omwana Ssengooba Fulujensio kigambibwa nti yava mu mbeera n’akuba omwana emiggo egyamukosa ennyo, kwekulagira bamudduse mu ddwaliro lye Kakuuto H/C IV.
Abasawo be Kakuuto yabalemerera nebalagira atwalibwe mu ddwaliro ekkulu e Masaka gy’afiiridde.
Taata amawulire g’okufa kw’omwana olumugudde mu matu, nn’azirika naye naddusibwa mu ddwaliro lya Kakuuto H/C IV, police gyemusanze ng’ajjanjabibwa nemussaako empiingu.
Ssentebe w’e Kakuuto, Kyakuwadde Max agambye nti taata yandiba nga yakozesezza obusungu obuyitiridde okukangavvula omwana, n’awa abazadde amagezi okwewala obusungu obwettuumbiizi ku baana.
Omulambo gw’omwana Nakalawa Kevin gutwaliddwa ku kyalo Nsenyi mu gombolola ye Kibanda mu district ye Rakai gy’agenda okuziikibwa.
Bisakiddwa: Ssozi Ssekimpi Lwazi