Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Kasaana Mateete mu district ye Ssembabule abatuuze bagudde ku kinnya omwaziikibwa abaana 5 abazze babuzibwawo
Abatuuze nga bali wamu ne police okugwa ku kinnya kino ekiri mu nyumba ya mutuuze munabwe,kidiridde police okutandika okuketta ennamba y’essimu ebadde esaba ensimbi okuva eri bazadde b’abaana abaawambibwa.
Police ekedde mu kitundu kye Kasaana wesanze essimu ebadde ekubira abazadde, kwekumusaba abaana nabategeeza nti yabatta dda, era police bwajitutte mu kinnya ekiri mu nnyumba ye kwekugwa ku mirambo gy’abaana bataano.
Embeera eno etiisiza abatuuze nga bagamba nti bulijjo abaana babwe ababuzibwawo mu Mateete battibwa musajja ono
Abatuuze bawanjagide ab’obuyinza okukwata bonna ababadde benyigira mu ttemu lino bavunaanibwe
Police mu kiseera kino yakakwata abantu basatu era bonna bagaliddwa ku police ye Mateete nga n’okunonyereza bwekugenda mu maaso
Bisakiddwa: Sharif Lukenge