Police eyimirizza bunnambiro ebibinja by’abavubuka ganga ebibadde byegulidde erinnya mu kutambula n’abayimbi abatali bamu mu bivvulu , nebakola efugyo omuli n’okukuba abantu.
Police okuyisa ekiragiro kino kivudde kulwanagana okwabaddewo wakati womuyimbi Pius Mayanja amanyiddwa nga Pallaso ne Mulwana Patrick eyeyita Allien Skin, ganga zabwe bwezaalabwako nga zirwanagaana.
Mu kiragiro Police kyeyisizza eragidde abayimbi okutambula n’abantu 5 bokka, nga baliko ebivvulu byebayitiddwako okuyimba.
Buli muyimbi alina kutambula na Manager we, DJ w’omuyimbi,omuwandiisi we,omuwanika w’ensimbi saako ow’ebyokwerinda bye.
Omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyago abadde mu lukungaana lwa bannamawulire ku Kitebe Kya police e Naguru, nategeza nti omuyimbi anasangibwa ne ganga okuva ku bantu aba 5 abakkiriziddwa wakukwatibwa ne ganga ye yonna.
Onyango agambye nti baliko n’ensisinkano ezenjawulo zebakyakola nabakwatibwako bonna, okuttaanya ensonga eno.