Police nate erungamizza abaneetaba mu Kulamaga e Namugongo nga 03 June,2024 okwewala emivuyo mu by’entambula n’ebyokwerinda byabwe.
Oluguudo oluva e Jinja okutuuka Kampala lwakukozesebwa nga buligyo , kyokka tewali mmotoka egenda kukkirizibwa kuluvaako kudda mu bitundu bye Namugongo.
Oluguudo oluva e Kiraka okugenda e Kyaliwajjala lugenda kutwaala mmotoka zokka n’Abantu abagenda e Namugongo.
Enkulungo ye kyaliwajjala -Naalya yaakukozesebwa mmotoka ezinaaba ziva e Namugongo, songa oluguudo oluva e Kyaliwajjala okugenda ku Kiggwa ky’Abajulizi n’Ekijjukizo ky’Abakulisitaayo lwakukozesebwa mmotoka zokka ezirina sitiika ezigenda mu bifo ebibiri n’Abalamazi bokka.
Abagenyi abayite bokka abalina sticker mu bifo ebyo ebibiri bebagenda okusimba ebidduka mu bifo ebirambikiddwa.
Abalina sticker Emyuufu bagenda kuyita ku ssemambo Road bayingire mu Namugonbo primary school, abagenyi abalina sticker za VVIP ne VIPS mu Bakristayo baakuyita e Bweyogerere Bbuto –Kyobe , olwp basimbe ku Faamu.
Abagenyi abava ebweru wa Uganda nga bagenda ku Kiggwa ky’Abajulizi bakusimba ku Viena College ne sticker eza Blue, olwo boolekere Kyaliwajjala ppaka Namugonbo nga batambuza Bigere.
Mmotoka zonna ezigenda okuwa abalamazi Obujjanjabi zakuweebwa sticker eza Kiragala , ate abaliko obuweereza obwenjawulo bwebakola bakukozesa sticker eza kakobe. Bano baakukozesa oluguudo lwa St Kizito ku police ye Namugongo.
Abalamazi abagenda e Mamule international prayer center baakukozesa Bweyogerere Buto –Kyobe.
Abava ku Nothern By Pass bakusimba ku Hill Side Nursery and primary school.
Abava e Ntinda- Kiwaatule –Najeera- Kasangati bakusimba ebidduka ku kisaawe kya Kira Town Council ne ku Mayors Garden.
Abava e Jinja nga bagenda mu bakulisitaayo bakukozesa Sseeta, Ssonde, Bweyogerere , Bbuto- Kyobe bakusimba ku Faamu ya Kanisa.
Omwogezi wa police y’ebidduka mu ggwanga Michael Kananula, ategeezezza nti mmotoka ezitalina sticker tezigenda kukkirizibwa kusembera kumpi n’ebifo ebimu, olwokweewala omugotteko.
Kananula mungeri yeemu ategeezezza nti tewali stage ya Bodabooda yadde taxi egenda kukolera mu bitundu ebimenyeddwa, era nga ezinakwatibwa bannyinizo bakusasulira omutango.
Bisakiddwa: Kato Denis