Police y’ebidduka etaddewo abasirikale abatambulira ku pikipiki ku nguudo ezenjawulo okuwerekera abalamazi abagenda ku biggwa by’abajjulizi e Namugongo okulamaga.
Buli nga 3 June, enkumi n’enkumi z’abalamazi ziva munsi yonna okujja okulamagga e Namugongo, okujjukira abajjuluzi abaafiirira eddiini.
Police etegezeza nti kino ekikoze okutaasa abalamazi okutomerwa emmotoka ku nguudo kwebatambulira okutuuka e Namugongo.
Omwogezi wa police y’ebidduka Micheal Kananura asinzidde mu lukuηaana lwa bannamawulire ku kitebe kya police e Nagguru naasaba abalamazi abanatambula ekiro okwambala obujaketi obwaka ekiro, basobole okwewala okutomerwa ebidduka, wabula naasaba n’abavuzi b’ebidduka okubeera abegendereza ku makubo okuli abalamazi.
Enteekateeka z’okukuza olunaku lw’abajulizi nga 03 June,2025 e Namugongo ku biggwa by’abakatuliki n’aba Anglican zigenda mu maaso.