Police erinnye eggere mu nteekateeka z’olukiiko lw’abatuuze n’abakulembeze mu bitundu bye Kasokoso mu Kampala, ababadde bagenze okusalira awamu amagezi ku nteekateeka z’ekitongole kya NEMA ez’okubasengula mu ntobazi.
Olukiiko luno lubadde lwetabiddwamu mayor wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago, ababaka ba parliament; Ssemujju Nganda owa Kira municipality, owa Nakawa East Nsubuga Balimwezo n’abakulembeze abalala.
Police esoose kwogwera n’abakulembeze bano nebalagira okusazaamu olukiiko.
Wabula abatuuze basoose kwesisiggiriza oluvannyuma nebatabukan’abalala okuwereekereza ebigambo ebisongovu, kwekukuba amasasi mu bbanga n’okubakubamu omukka ogubalagala.
Abakulembeze police ebakutte nebassa mu mmotoka zaayo nebazza mu maka gaabwe.
Bisakiddwa: Tonny Ngabo