Police erabudde abantu abateekateeka okutambula okwolekera ekizimbe kya Parliament ya Uganda okulaga obutali bumativu bwabwe ku bigambibwa nti yewasibuka obulyi bw’enguzi, ebagambye nti ssibakukkirizibwa.
Police egamba nti bakoze okunoonyereza nebazuula ng’abakulembeddemu enteekateeka eno balina ebigendererwa ebikusike, era neebalabula nti wadde ng’essa ekitiibwa mu ddembe lyabwe ery’okukungaana, nti naye sibaakubakkiriza kutabangula mirembe.
Omwogezi wa police mu ggwanga Rusoke Kituuma asinzidde Nagguru mu lukungaana lwa bannamawulire, naategeeza nti abawomye omutwe mu nteekateeka eno ey’okukunga abantu bakozesa mutimbagano, nalabula abantu obutetantala kwetaba mu kutambula okwo.
Kigambibwa nti okutambula kuno kutegekeddwa kubaawo nga 23 July,2023.