Police mu Kampala n’emiriraano erina abantu 176 abaakwatibwa ku misango egyenjawulo ku biggwa by’abajjulizi e Namugongo, nga 3 June,2025.
Okusinziira ku police, abantu 76 bakwatiddwa lwakweyisa ng’ekitagasa, sso nga 96 baalopeddwa oluvannyuma lw’okwenyigirira bikolobero ebyenjawulo.
Egimu ku misango egyaloopeddwa,
81 baakwatiddwa nga bateeberezebwa okubba essimu, 16 zezaakanunulwa.
Egy’obubbi bw’ensawo z’abakyala gyabadde 24 , 15 zaanunundwa, omu 1 yakwatiddwa mukugingirira ebiwandiiko, 2 baakwatiddwa mu kusaasaanya sente z’ebicupuli.
Amyuka omwogezi wa police mu Kampala ne mirirano Luke Owesigire agambye nti okutwaliza awamu obuzzi bw’rmisango bwabadde bungi mu kulamaga kw’omwaka guno.#