Police ye Kiwangala mu district ye Lwengo ekutte omukazi kagwe nsonyi akakkanye ku mwana omuto namutunuza mu mbuga za sitaani
Kigambibwa nti omwana bazadde be babadde bamutumye ku dduuka, omukyala n’amulimbalimba namutwala mu kazigo ke okukakkana ng’amutunuzza mu mbuga za sitaani.
Omwana omulenzi atemera mu myaka nga 13 bwavuddeyo, adduse n’ategeeza nnyina ebimutuseeko oluvannyuma nebaddukira mangu ku police egenze nekwata omukazi.
Abamu ku batuuze aberabidde ku mawano gano gano bategezezza nti omukazi kaggwa ensonyi bamumanyiiko erinnya limu lya Jane, wa ku kyalo Migongo mu Lwengo.
Bisakiddwa: Sharif Lukenge