Police ekutte munnaddini ateberezebwa okutemula omukozi w’ekitongole kya URA Ngoroko John Bosco, gwalinako oluganda.
Ngorok yafumitiddwa ebiso mu bitundu bye Entebbe.
Munaddini akwatiddwa police ye Alinga Dominic abadde aweerereza mu district ye Nakapiripiriti mu diocese ye Moroto, era nga police yakozesezza camera zaayo zimulengera wala nezuula gy’abadde yekukumye.
Kigambibwa nti munnaddini yoomu ono abadde n’emisango egiwerako omuli ogw’okubba ebirabo bya klezia mw’abadde aweerereza ebisukka mu bukadde bwa shs 6, era ng’abadde yakayimirizibwa ku buweereza mu mwezi oguwedde ogwa July.
Omwogezi wa police mu ggwanga Rusoke Kituuma asinzidde mu lukungana lwa banamawulire ku Kitebe Kya police e Nagguru, nategeeza nti okusinziira ku kunoonyereza kwebaakakola balina obujjulizi obumala obulumika munnaddiini ono.
Kituuma ategeezezza nti wakubayambako n’okukwata abantu abalala abagambibwa okuba nga baabadde akola nabo ebikolobero ebirala.#