Police e Mayuge ekutte abantu 6 abagambibwa okutta omulonzi mu kalulu aka NRM akabaddewo.
Omugenzi ye Peter Kyebalonda abadde mutuuze ku kyalo Bulubudde mu gombolola ye Malongo mu district ye Mayuge.
Omwogezi wa police etwala ekitundu ekyo Kifayo Michael agambye nti abantu bano 6 bakkakanye ku munaabwe nebamukuba ensambaggere n’ebikonde ebyamusse.
Kigambibwa nti omugenzi omuntu gweyabadde awagira yawanguddwa mu kalulu k’okulonda abakulembeze ba NRM ku kyalo, era ngaawo wewaasibuse obutakkaanya abawagizi b’abesimbyewo nebataandika okulwana.
Abakwate bakuumibwa mu kaduukulu ka police e Mayuge nga bwebaliinda okutwalibwa mu kooti bawerennembe n’emisango.
Bisakiddwa: Kirabira Fred