Kyadaaki ekisinde ky’ebyobufuzi ki People’s Front for Freedom (PPF) kikubiddwa mu Kyapa kya Government ekitongole ekimanyiddwa nga Gazette.
Banakisinde kya PPF baludde nga bakukulumira akakiiko keby’okulonda mu ggwanga nga bakalumiriza okulwawo okuwandiisa ekisinde kino okufuuka ekibiina kyebyobufuzi.
Omwogezi w’akakiiko keby’okulonda Julius Muchunguzi ategezeezza nti oluvanyuma lw’okukuba ekisinde kino mu kyapa , kiwereeddwa ennaku 14 ng’etteeka bweriragira kiryoke kirangirirwe ng’ekibiina.
Wabula President wa People’s Front for Freedom Ssaalongo Elias Lukwago ekikiidde akakiiko keby’okulonda ensiingo olw’okubakandaaliriza okubakakasa ng’ekibiina kyebyobufuzi.
Mungeeri yeemu Lord Mayor wa Kampala Lukwago agamba nti nebwanatoongozebwa ng’ekibiina ekijjuvu, tebasuubira ky’amaanyi olwokunyigirizibwa okuli ku Ludda oluvuganya government.
Bisakiddwa: Julius Ssebuliba