Omuwandiisi w’ennyimba z’amasomero Paul Ssaka asuubizza abawagizibe nti ku myaka 50 wakuddamu okubategekera ekivvulu ekirala eky’ennyimba zaayiizizza n’okutendeka, nga bweyakoze ng’awezezza emyaka 33 mu mulimu guno.
Ekivvulu kino ekiyindidde ku Serena Hotel mu Kampala kyatuumwa “33 years of Paul Ssaka and School music in Uganda”.
Ssaka yewuunyizza mwami Francis Muwonge nnyini masomero ga Buddo SS okumukuuma emyaka 24 miramba era nga na buli kati gyakyatendeka, songa gyeyasookera bannyini masomero olw’embeera gyabaamuyisangamu yasibangamu ebyangu n’alekulira nga tasiibudde.
Muwonge asiimye Ssaka olw’omulimu gwakoze ogw’okutendeka abayizi ennyimba z’amasomero ezifuuse ensonga, era n’amutonera sseddume w’ente
Pastor Alosius Bugingo eyeyise best friend wa Ssaka naye amusiimye olw’okutendeka abaanabe okuwandiika,okuyimba n’okukuba ebivuga.
Abayizi abaasomerako mu masomero agenjawulo gyeyatendekako okuli baana ba St Balikuddembe,Kisoga era nga muno mwemubadde Stella Kayaga,omusumba Wilson Bugembe ne Rehema Namakula nabalala, baabaddewo era nebayimba.
Dr Rashid Lukwago ssabagubjuzi mu Kisaakaate kya Naabagereka naye mukusiima byaze amukolera bweyali akyakulira Nkozamboga asabye Ssaka amuweeyo omwanawe amuweerere okutuusa gyalikoma.
Omutandisi w’ekirooto kyokukola ekijjaguzo ky’emyaka 33 , eyeyita School Girl Diana yeebazizza mukama ayanukudde ekirooto kino.
Ezimu ku nnyimba eziyiiyiziddwa Paul Ssaka kuliko; Maaso Moogi, Lukeberwa, Ntambula Ngaludde, Munsi muno okozeemu ki, Gaali maka, n’ennyimba endala nnyingi.
Bisakiddwa: Tamale William