Akakiiko ka parliament akasunsula ababeera balondeddwa ku bukulembeze bw’ebitongole bya government ebyenjawulo, nga kakulirwa sipiika Anitah Annet Among kasunsudde abakiise ku kakiiko akakulira eby’obulamu aka Health Service Commission
Dr. Henry Mwebesa ye ssentebe, Christine Kakuru Kyomuhangi ye mumyuka.
Abakiise kuliko Dr Nathan Onyanchi, Dr Mary Namubiru, Stephen Peter Aisu, Janet Okumu ne Thomas Obua.
Ebivudde mu kusunsula biweerezebwa omukulembeze w’eggwanga.#