Libadde ssanyu jjereere ku Kisaawe ky’ennyonyi e Ntebe abakkiriza Abasoddookisi mu Uganda bwababadde baaniriza Ppaapa era Patriarch of Alexandria and all Africa Omutukuvu Theodoros II.
Agenyiwadde mu Uganda ku bugenyi bw’Obutume bwa nnaku ssatu.
Ayaniriziddwa Ssaabasumba w’Abasoddookisi mu Uganda Jeronious Muzeeyi, omubaka wa Misiri mu Uganda Monzer Salim, ba Bshop okuli owa Kampala, Jinja ne Gulu wamu n’abamu ku babaka ba Parliament Abasoddookisi ne bannaddiini abalala bangi.
Ssentebe w’olukiiko oluteekateeka obugenyi bwa Ppaapa era omubaka wa Lwemiyaga mu Parliament Hon Theodore Ssekikubo agambye nti obugenyi bwa Ppaapa Theodoros II bwamuwendo nnyo eri abakkiriza bonna ne Uganda ng’eggwanga okutwalira awamu.
Agambye nti Ppaapa ku bugenyi buno waakukyalira ebifo eby’enjawulo okuli Gulu Lwemiyaga n’ebitundu bya Acholi.
Agenda kusisinkana abakulembeze ba Eklesia n’abalala mu ggwanga.
Omubaka omukyala owa Kalangala Hon Hellen Nakimuli agambye nti obugenyi bwa Ppaapa bugenda kwongera amaanyi mu kukkiriza kw’Abasoddookisi mu ggwanga ate n’okutumbula enteekateeka zaabwe omuli eby’obulamu n’ebyenfuna.#