Omwoleso gwa CBS PEWOSA Nsindikanjake ogukulungudde ennaku 5 nga guyindira mu Lubiri e Mengo guggaddwawo.
Omumyuka owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda, Owek.
Robert Waggwa Nsibirwa yagugaddewo n’asaba abantu ba Kabaka okunnyikiza obwegassi, n’okukola bave mu bwavu.
Yeebazizza abaddukanya Radio ya Kabaka CBS olw’okutambulira ku mulamwa gw’okukulaakulanya abantu be nga batandikawo enkola nga CBS PEWOSA.
Asabye abatannaba kwegatta ku PEWOSA bakikole mu bwangu kubanga yeeyokka ejja okubavvuunusa obwavu.
Asabye abavujjirizi bagunjeewo enkola y’okutta emikago n’ebitongole by’obwakabaka, n’agamba nti Buganda erina akatale akategeerekeka akategeerekeka nti era akolagana nabwo tayinza kuviiramu awo.
Ssenkulu wa CBS FM Omuk. Michael Kawooya Mwebe agambye nti enteekateeka nga zino bakwongera okuzitwala mu maaso, kubanga baakizuula nga ziyamba okukulaakulanya abantu n’okutambulira awamu.
Nnamukisa Mutaawe Moses yeewangulidde kapyata ya Pikipiki eyaweereddwayo bannamukago aba Simba Automotives.
Pikipiki eno agiwangulidde mu kalulu akalondeddwa Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, oluvannyuma n’agimukwasa.
Aboolesi abasoba mu 300 beeyanzizza nnyo Ssaabasajja eyabatandikirawo CBS nayo nebanoonyeza obutale mu ngeri y’okubatandikirawo omwoleso guno ogubayambye okufunamu ensimbi n’emikwano.
Abakulu mu bitongole bya government eya wakati okuli ministry of internal affairs, NIRA ekivunaanyizibwa ku kuwandiisa banna Uganda, NSSF, URA n’ebirala beebazizza nnyo CBS olwenteekateeka eno ebayambye okutuusa obuweereza bwabwe ku bantu ba Ssaabasajja nga tebabonyeebonye kubanoonya.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K