Omuyimbi Fik Fameica ng’amannya ge amatuufu ye Walukagga Shafik asomoozezza abayimbi abaakatandika, okubeera abagumiikiriza baleme kupapirira kufuuka ba kabi ng’ekiseera kyabwe tekinatuuka.
Fik Fameica agamba nti abayimbi abamu oluba okutandika okuyimba nga balowooza buli kimu kyangu, nga batandikirawo okweyisa ng’abayimbi abaludde mu kisaawe, bakomekkereza baweddemu esuubi nebatuulira ebitone byabwe.
Abawadde amagezi nti bakole n’amaanyi wakiri okumala ebbanga lya myaka nga mukaaga, nga bwebakuza omuziki gwabwe.
Agambye nti ebbanga eryo werigwerako, bajjakufuuka abaakabi, ekifo kyokulowooleza mu kufuuka ba ‘ba star’ nga bakatandika okuyimba.
Agambye nti omuntu okwekkiririzaamu
n’okwekwata ku katonda nsonga nkulu,n’okwewa obudde baleme kupapa”
Fik Fameika abadde mu studio za CBS emmanduso mu programme Evenning Cruiz ekubirizibwa Dikteta Mark.
Evenning Cruiz ebeerawo okuva ku ssaawa kkumi okutuuka saawa emu eyakawungeezi okuva Monday okutuuka Friday.
Buli lwakuna wabeerawo omuyimbi omututumufu ekyala mu studio, mu nkola eyatuumwa ‘Celebrity thursday’.
Mu kalulu akabindabinda abayimbi balonde abakulembeze babwe, Fik Fameika agambye nti akalulu ke wakukawa Ssemanda Mansur amanyiddwa nga King Saha ku kifo kya president wa Uganda musicians association
Abalala abavuganya ye Cinderera Ssanyu amanyiddwa nga Cindy ne Mutebi Ramathan
Fik Fameika ayimbye ennyimba eziwerako omuli Kutama,mutuwulira,Sconto n’endala.
Era nga mu mwaka gwa 2017 ne 2018 gyeyasinga okucaaka ennyo.
Ayogedde ne kunnyimba ezisinga okumunyumira
1. Kanzunzu lwa Fik Fameica
2. Any body lwa burna boy
3. Majje lwa Fik Fameica ne Azawi
4. Byewetaaga lwa Mozero Kids
5. Forever lwa Jose chameleone
6. Weekend lwa Eddy Kenzo
Bonus track zakayo by king saha
Ebifaananyi: Musa Kirumira