Abantu abasoba mu 30 bebasusunsuddwa ku lunaku olusoose, ku kitebe ekikulu eky’akakiiko ke byokulonda ekisangibwa mu Industrial Area mu Kampala, begwanyiza okukiikirira ebiwayi by’abantu abenjawulo mu parliament.
Kuliko bakadde, abavubuka, abakozi saako abaliko obulemu.
Okusinziira ku kakiiko k’e byokulonda, ku kya bakadde 6 bebasunsuddwa , ku kyabavubuka akakiiko kakasunsula abantu 11 , ku ky’abakozi abantu 12 bamaze okusunsulwa, nga kubano kwekuli Fiina Mugerwa Masannyalaze, sso nga 9 basunsuddwa okukikirira abakadde mu Parliament.
Abamu kubqsunduddwa kuliko Ofwono Opondo ayagala okukiikirira abakadde, Nakku Phiona eyagala kukiikirira bakozi abakyala, , Alinaitwe Rwakajjara ayagala kuddamu kukikirira bakozi, Fiina Mugerwa Masannyalaze ayagala ky’abakozi, Kato Gabudyeri azze okukiikirira abantu abaliko obulemu saako Diana Kampulire Kampe naye yegwanyiza kifo ky’omukyala akiikirira abakozi.

Omuyimbi Fiina Mugerwa alina ennyimba eziwerako omuli Masannyalaze abawagizi be lwebaamubbulamu erinnya, endala: Ffunduukululu, Kambalangire n’endala.
Fiina Mugerwa agambye nti ekimuyingizza olwokaano lw’okuvuganya mu by’obufuzi be bakozi abakola emirimu gya nnekolera gyange, abakyala abakola egyewaka n’abalala abakola egyalejjalejja, abataweereddwa ddoboozi limala okutuusa ensonga zabwe mu parliament.
Agambye nti ababaka ababaddeyo mu parliament bakoze bulungi, nti naye bagudde olubege, basiinga kufa ku nsonga z’abakozi abakola mu wofiisi n’ebitongole ebinene.#












