Akulira abalamuzi ba kkooti e Mpigi Joan Acaa aliko omusomesa gwasindise mu kkomera amaleyo emyezi 48, oluvanyuma lwokusingibwa omusango gwokutulugunya abaana ba mwannyina.
Nalutaaya Dorothy asingisiddwa omusango gw’okutulugunya abaana ba mwanyina beyamuwa okulabirira
Obujulizi bulaze nti okuva mu mwezi gwa February okutuuka mu October,2023 Nalutaaya abadde atulugunya abaana ba mwannyina beyamuwa okulabirira okuli Najjemba Ketra ne Nalutaaya Lydia.
Bisakiddwa: Yoweri Musisis