Ekikangabwa n’entiisa bibuutikidde abatuuze be Kijjabwemi mu kibuga Masaka, omusajja abadde ayokya olupanka lw’omupiira gw’emmotoka bwe gubaluse negwabika, negumuttirawo saako n’omulenzi abadde amuyambako.
Waliwo omusajja abadde tanategerekeka mannya nagyavudde ng’ajjidde ku Bodaboda naleeta omupiira gwa loole Fuso ogubaddemu n’omukka, ku kibanda ekyokya ebumyuma ekya Norman Abooki e Kijjabwemi okumpi n’enkulungo, bagwokyeko olupanka.
Norman atandise okwokya olupanka ng’ayambibwako akalenzi ak’emyaka nga 15 egy’obukulu akategerekeseeko erya Timothy, wabula omupiira gubaluse omulundi gumu negukuba omusinde ng’ogwa bbomu.
Omusinde guno gusitudde akalenzi negukawanika mu bbanga nekavaayo nekagwa ku kasolya k’ennyumba, era kagenze okugwa wansi nga kamaze okufa.
Nanyini kibanda kya Weldingi Norman Abooki naye akaliddewo wabadde ayokera omupiira.
Bisakiddwa: Tomusange Kayinja