Entiisa egudde ku kyalo Katebere mu muluka ogwe Kitebere mu ggombolola ye Butayunja Busujju mu district ye Mityana, omupakasi wawaka atemudde mukamaawe, oluvannyuma n’amweziikira mu nnimiro.
Kasozi David 50 ng’abadde yawummula ogw’obusomesa yagambibwa okuttibwa omupakasi wawaka, ng’omupakasi ategerekeseeko erinnya limu lyokka erya Joseph atemera mu myaka 28 egy’obukulu.
Abatuuze be Katebere Butayunja okugwa ku kinnya omwazikiddwa omugenzi Kasozi bamaze kwekengera, oluvannyuma lw’okulaba ng’omugenzi amaze ennaku 4 nga talabikako, so ng’ate omupakasi Joseph abadde atandise okutunda ebintu bye naddala ebisolo.
Kitegeerekese nti omugenzi Kasozi David abadde n’amaka e Mityana, era gyeyaggya omupakasi namutwala ku kyalo Katebere Butayunja amuyambeko ku mirimu gy’okulima.
Omugenzi olumu abadde asula munju gyeyazimba ku kibanja ekyo, nga kirabika omupakasi yamusse mu biseera ebyamatumbi Budde.
Cbs ekitegeddeko nti abooluganda lw’omugenzi Master Kasozi David ennaku nga 4 emabega baakutte omupakasi Joseph nebamutwala ku police eye Kakindu Busujju naggalirwa, nga bamulanga okukakkana kubisolo byamukamaawe naabitunda awatali kufuna lukusa kuva wa mukamaawe.
Wabula, oluvannyuma lw’okunoonya Master Kasozi nga talabikako, abatuuze betoolodde ekibanja ky’omugenzi okutuusa lwebagudde ku kinnya ekyaziikiddwamu omugenzi wansi mu musiri gw’emmwanyi.
Olwamaze okumuziikamu olwo ettaka naalitandaaza bulungi okubuzaabuza obujulizi, era kungulu baasuddeko ebikuta by’ebikajjo okwongera okubuzaabuza.
Aboluganda lw’omugenzi n”=abatuuze batakudde ku ttaka okuva mu kinnya akaziikiddwaamu omugenzi batuukidde ku mpale y’omugenzi gyeyabadde ayambadde, nga mu kiseera kino balinda police okuva e Mityana okuziikulayo omufu.
Omu kubadduukirize ngeera ye Ssentebe wekyaalo ekirinanyeewo ekye Butayunja nga ye Tamale Robert agambye nti ettemu libakanze nnyo ate n’asaba abantu abanoonya abapakasi basooke kweetegereza bibakwaatako.
Bisakiddwa: Patrick Sserugo