Omuliro gusaanyizzaawo ekisulo ky’abaana ku ssomero lya Entebbe Salvation pre-primary e Kawafu mu muluka gwe Kabale mu Katabi town council.
Abakulira essomero bagamba nti omuliro guvudde ku masannyalaze agabwatuuse omulundi gumu, ekiddiridde gubadde muliro kukwata zi waya mu kisulo ky’abaana abalenzi negusaasaanira n’ekisulo ekirala.
Bagamba nti Abaana bonna abasoba mu 30 bataasiddwa era tewali afunye kisago.
Kansala w’omuluka gwe Nkumba ku Katabi town council omu kubadduukiridde enjega eno, agambye nti essomero n’abatuuze bakoledde wamu okutaasa abayizi.
Bisakiddwa: Kakooza Georgewilliam