Omusuubuzi era omuvuzi w’emmotoka z’empaka Rajiv Ruparelia mutabani wa Naggagga Sudir Ruparelia afiiridde mu kabenje akagudde ku luguudo lwa Kampala Express wakati wa Kajjansi ne Munyonyo, Makindye Ssaabagabo Wakiso district.
Akabenje kaguddewo ku ssaawa musanvu n’eddakiika 54 ez’ekiro, okumpi n’ebitaala by’e Busaabala.
Rajiv abadde avuga mmotoka kika kya Nissan GTR No. UAT 638L.
Ayingiridde ebyuma ebyassiddwa mu kkubo, emmotoka neegwa nekwata omuliro.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yoomu ku bakungubazi abeyiye mu bungi mu maka ga Sudir Ruparelia e Munyonyo okukungubagira mutabani we.
Katikkiro abasaasidde olw’okufiirwa omwana omulenzi omu yekka bwati gwebabadde naye.
Mu mbeera yeemu Katikkiro agambye nti Family ya Sudir Ruparelia yenyigidde mu nkulaakulana nnyingi mu Bwakabaka ne ggwanga lyonna okutwalira awamu.
Minister w’ebyenguudo Gen. Katumba Wamala ne minister omubeezi avunanyibwa ku bamusiga nsimbi Evelyn Anite, nabo basingiddwa mu lumbe ewa Sudir Ruparelia, gyebategeerezza nti eggwanga lifiiriddwa nnyo.
Amawuliire amatongole ku kwokya omulambo gwa Rajiv Ruparelia nga bwekiri mu Buwangwa bw’abayindi teganafulumizibwa, wabula nga kigambibwa nti ayiinza okwokebwa ku Tuesday nga 6th May, 2025, mu kibangirizi kya Bayindi ekya Hindu Cremation Grounds e Lugogo-Kampala.
Bisakiddwa: Musisi John