Nabbambula w’omuliro atanategerekeka kwavudde asanyizaawo ebintu bya bukadde na bukadde bwa nsimbi ku kizimbe kya Ben Plaza ekisangibwa ku kyalo Gangu B mu Makindye Ssaabagabo.
Abatuuze aberabiddeko bagamba nti obuzibu bwandiba nga buvudde ku masanyalaze nti gasuse okuvavaako naddala obudde obw’ekiro.
Abatuuze era bebazizza police nti ku mulundi guno etuuse mu bwangu okuzikiriza omuliro ogubadde gugenda okukwata ebizimbe ebirala.
Bisakidswa: Lukenge Sharif