Omulimu gw’okuzimba eddwaliro lya Muteesa II health Centre IV, Ssaabasajja Kabaka lye yasiima naawa abantu be Ssingo gugenda Bukwakku.
Eddwaliro lizimbiddwa ku mbuga y’e gombolola ye Busimbi mu Ssingo.
Omumyuka asooka owa mukwenda Owek. Noah Kantu Nsimbi alambuddeko mulimu gw’okuzimba wegutuuse, era natendereza obwangu n’obukugu bwebakozesezza.
Omulimu gw’okuzimba ddwaliro lino gwatongozebwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga nga 2 May, 2023, mu kibangirizi kye mbuga ya Ggombolola ya mumyuka Busimbi.
Bisakiddwa: James Kaana Ssebuguzi
Ebifaananyi: Robert Ssamula
Nampala ssazza Ssingo