Obubaka obukungubagira Omulangira Karim Al Hussaini IV, amanyiddwanga Aga Khan owa 49, omutonzi amujjuludde mu kiro nga 4 February,2025 ku myaka 88 egy’obukulu.
Omugenzi Karim Al Hussaini Aga Khan yaabadde omukulembeze owokuntikko owa 49 awabayisiraamu aba Ismailia munsi yonna.
Yaabadde omutandiisi era ssentebe wa Aga Khan Development Network, nga ky’ekitongole ekigatta kampuni za Agha Khan eziwera okwetoolola ensi yonna.
Aga Khan afiiridde mu kibuga Lisbon ekya Portugal okusinziira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa obukulembeze bwenzikkiriza eno obwa Diwan of the Ismaili Imamal
Mu Uganda, Aga Khan ngayita mu kitongole ki Aga Khan Development Network ,project mpitirivu zaasizeemu ensimbi ezikyusizza obulamu bwabantu, mu byobulamu, ebyenjigiriza, ebyenfuna,eby’amawulire nembeera zabantu.
Kuliko ebibiro ly’amasanyaze erya Bujagaali Hydro Power project, ng’ebbibiro lino lyerimu ku mabibiro agasinga okusunda amasanyalaze agayimirizaawo Uganda, Aga Khan University, yazimbye n’eddwaliro lya Aga Khan University Hospital e Nakawa.
Projects endala kuliko kampuni y’amawulire eya Nation Media omugwa emikutu gy’amawulire okuli Daily Monitor, NTv, spark Tv, KFM, Dembe FM, The East African Paper n’emirala.
Aga Khan era Alina emigabo mu bank ya Diamond Trust Bank DTB, ye nnanyini Kampala Pharmaceuticals saako kampuni ya West Nile Rural electrification company WENRECO nga yetambuza amasanyalaze mu bendobendo lya West Nile.
Ekiwandiiko ekifulumiziddwa olukiiko lwa Diwan of the Ismaili Imamal, kitegeezezza nti Omulangira anadda mu bigere by’Omugenzi Karim Al Hussaini nga ye Aga Khan owa 50, wakulangirirwa oluvanyuma lw’okussma ekiraamo kya Aga Khan owa 49.#