Omukozi w’awaka agambibwa okukwata ekiti nakisonseka mu bukyala bwebujje n’abutaagula asimbiddwa mu kkooti enkulu mu Kampala naggulwako omusango gw’okukabasanya atanneetuuka.
Mwana muwala Alice Kiiza ow’emyaka 25 kigambibwa mu August 2021 yakakkana ku mwana wa mukamawe ow’emyaka 4 gyokka, naamusonseka ekiti mu mbugo.
Nnyina w’omwana olwadda eka yasanga omwana ataawa nti era kwekukebera ku Camera yewaka gyeyasanga akatambi akalaga ebikolwa ebyekko Alice byeyali atuusiza ku mwana.
Alice olusimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Isaac Muwata, omusango agwegaanye ng’agamba nti bamusibako matu ga mbuzi kumuliisa ngo.
Omulamuzi alagidde omusango guno okutandika okuwulirwa nga 22 omwezi guno ogwa June, era nalagira mwana muwala Ono okutwalibwa ku alimanda e Luzira.
Okusinziira ku ludda oluwaabi, luyina obujulizi obwa Alipoota okuva mu ddwaliro eyakakasa nti ebitundu by’omwana ebyekyama byayuzibwa, akatambi akalaga bino ne nnyina w,omwana okunnyonyola ebyaliwo.
Bisakiddwa: Mpagi Recoboam