Police mu Kampala n’emiriraano etandise omuyiggo gwa kalibutemu eyasse omukozi w’ekitongole ekiwooza ky’omusolo ekya Uganda Revenue Authority John Bosco Ngorok.
Ngorok yattiddwa mu bitundu bye Entebbe gyabadde yakasindikibwa okuweereza mu wofiisi ya URA.
Kigambibwa nti omutemu yamulabirizza ng’ali mu mmotoka ye, n’amufumita ekintu ekyefaananaanyiiriza ekiso, yabadde adda Kampala.
Omumyuuka wa Commissioner era nga ye mwoogezi wa URA Robert Kalumba, ategeezezza CBS nti John Bosco Ngorok abadde mukozi nnyo ate ng’abadde y’amaliriza emisomo gye ku Kyambogo University.
Agenda kuziikibwa ku butaka mu District ye Nakapiripirit gy’azaalwa.
Bisakiddwa: Kato Denis