Police okuva e Kakiri ewaliriziddwa okuyimiriza olukungaana wamu n’enteekateeka zabavubuka bannakibiina kya National Unity platform ababadde bakungaanidde ku New Eden Guest House mu musomo ogw’okweteegekera akalulu k’abavubuka akanaatera okubeerawo.
Kivudde bawagizi babeegwanyiza okukiikirira ekitundu kya Busiro North okutandiika okuggwangana mu malaka n’okwerangira ebisongovu, nekizeeko ye police ikuyimiriza olukiiko luno .
Abawagizi babeesimbyewo okuli ab’omubaka wa Busiro North Paul Nsubuga ne Ssemaganda Ronald buli omu abadde alumiriza oludda olulala okukyankalanya olukiiko olubadde luyitiddwa mu mirembe .
Omubaka wa Busiro North ng’aliyo ku ticket yekibiina kya Nup asabye abakulembeze mu kibiina kye okutangaaza ku bigambibwa nti munne ayagala okumwesimbako Ssemaganda Ronald nti yasindikiddwa abakulu ku kitebe kya NUP e Makerere Kavule .
Wabula ye Ssemaganda Ronald nga yoomu kubeegwanyiza okukiikirira ekifo kino, nga ono bamulumiriza okutabula olukiiko yesamudde ebimwogerwako nategeeza nti banne balemeddwa okukuunga bannakibiina, bwatyo ye nabasinza ensumika .
Wabula ye Namutyaba Sylivia nga yakulira abavubuka mu kibiina kya NUP mu bitundu bya Buganda, era nga yabadde azze okukulemberamu enteekateeka eno agamba nti nabo nga bannakibiina basobeddwa olweneeyisa y,abawagizi babwe mu Busiro North.
Agamba nti tewavaddewo nsonga etabangula lukiiko luno, nga bonna bannakibiina abeegwanyisa okukiikirira ekifo kino bawereddwa omukisa okubeerawo .
Bisakiddwa: Tonny Ngabo