Mbalamusizza abantu baffe mwenna!
Nze Ssaabasajja Kabaka, nga nsinziira wano wetwajja okuwummulako n’okujjanjabibwa nga tugendera ku magezi g’abasawo nga bwegaatuweebwa.
Tubadde tumaze akabanga nga tetubawulizaako, nga tugoberera ebiragiro by’abasawo ebyatuggya ku mirimu egisinga obungi.
Embeera y’obulamu bwaffe egenda etereera era tusuubira okudda ku butaka mu biseera ebitali byawala nnyo.
Twebaza Katonda atukuumye era n’Obuganda olw’okutusabiranga bulijjo ate n’obutaggwamu ssuubi wakati mu kusoomoozebwa okwamaanyi ddala.
Twebaza Katikkiro, ba minisita n’abaami ba Kabaka bonna olw’okusigala nga batambuza emirimu gy’Obwakabaka mu kiseera nga tetuli mu nsi.
Ebigenda mu maaso byonna tubigoberera era twebaza Obuganda olw’obujjumbize mu mirimu gy’Obwakabaka.
Twebaza abantu abaffe abagoberedde empisa, obuwangwa, ennono n’obulombolombo mu kiseera kino ekizibu ddala.
Nga bwetutera okwogera bulijjo, amaanyi gaffe gali mu kwegatta, tukubiriza abantu baffe okusigala nga bali bumu.
Mukama abakuume!