Bannakatemba n’abayiiya ebintu ebyenjawulo mu kisaawe ky’okwewummuzaamu n’ebisanyusa baweereddwa amagezi okweewa Obudde obumala nga bazimba ebitone basobole okubiganyulwamu.
Bannabitone mungeri yeemu basabiddwa okuyiiyiza eggwanga ebyo ebibazimba , omuli n’ikuyisa obubaka Obukusike mu nnyimba ne Katemba mu kifo ky’Okumansa Entungo nebeesittaza eggwanga.
Bwabadde yeetabye mu kivulu ky’Omuyimbi Hajji Haruna Mubiru Kitooke ekibadde ku Serena Hotel mu Kampala, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ajjukizza bannabitone obutapapa kunoonya nsimbi za mangu, wabula babiwe obudde banyirize Omulimu gwabwe olwo ensimbi zibanoonye.
Mu ngeri eyenjawulo Katikkiro yebazizza abayambyeko bannabitone, nga bakulembeddwaamu KT promotions ne MTN Uganda, nti bakoze kinene okulwaanyisa ebbula ly’Emirimu nga bakwaasaganya Abavubuka abetaaga ensimbi okweesitula.
Hajji Haruna Mubiru Kitooke yebazizza bonna abamuwagidde ebbanga lyonna ery’okuyimba era neyeeyama okusigala nga ateeka Obuyiiya mu kitone kyalina.
Bisakiddwa: Kato Denis