Embalirira ya Uganda ey’omwaka gw’ebyensimbi 2025/2026 eweza trillion 72 n’obuwumbi 367 essomeddwa mu butongole, nga government egenda kusobola okugiwanirirako ebitundu 51.5% byokka endala zigenda kwewolebwa okuva munda mu ggwanga n’ebweeru.
Government erangiridde nti ebyenfuna by’eggwanga omwaka ogujja 2025/2026 byakukulira ku bitundu 7% okuva ku bitundu 6.3% kwebiri omwaka guno 2024/2025.
Kisuubirwa nti ebyenfuna n’obugagga bweggwanga mu mwaka gw’ebyensimbi 2025/2026 byakuweza trillion 255 okuva ku trillion 2226 kwebiyimiridde olwaleero.
Minister w’ebyensimbi Matia Kasajia bwabadde ayanjulira eggwanga embalirira y’omwaka ogujja eya 2025 /2026 ku kisaawe e Kololo, agambye nti Uganda weyimiridde ebyenfuna byaayo biri bulungiko.
Agambye nti ebibalo ebyakolebwa ekitongole kyensi yonna eky’ebyensimbi ki International Monetory Fund biraga nti Uganda yava dda mu nsi enkuseere ezimanyiddwanga Low Developed Countries nga kati esenvudde.
Eby’obulamu n’ebyenjigiriza
Ebyenjigiriza, emizannyo, ebyobulamu nekikula kyabantu byebisinze okufuna omutemwa omunene , bifunye trillion 11 n’obuwumbi 440
Kuno kuliko trillion 5 n’obuwumbi 870 ezigenze mu kisaawe kyebyobulamu okuzimba n’okuddaabiriza amalwaliro, okugula eddagala n’okusasula abasawo songa ekisaawe kyebyenjigiriza kifunye trillion 5 okuli ez’okuzimba amassomero ga Seed secondary school gyegatali , okusasula abasomesa, nokugula ebikozesebwa mu masomero.
Kuliko ensimbi ezigenda okuzimba ebisaawe okwetegekera AFCON , okuggulawo University okuli eya Busoga, Bunyoro University nokuvugirira University za government ezenjawulo.
Eby’okwerinda
Ebyokwerinda, obukulembeze nebigwa mu kkowe eryo, bissiddwamu trillion 9 n’obuwumbi 900 nga zino kuli kuliko ezigenze mu police, amaggye, ekitongole kyamakomera, nebitongole byebyokwerinda ebirala.
Essira minister webyensimbi Matia Kasaija agambye nti ligenda kussibwa nnyo kukunyweeza ebyokwerinda nobutebenkevu bweggwanga mu kalulu akajja aka 2026 nebwekanaaba kawedde.
Ebyentambula
Ebyentambula, enguudo n’emirimu egigasiza awamu abantu biweereeddwa trillion 6 nobuwumbi 920, muno mwemuli ezigenda mu kampuni ya Uganda Airlines, okuzimba n’okuddaabiriza enguudo, entindo, okugula ebidyeeri n’okubiddaabiriza.
Obulimi n’obulunzi
Ebyobulimi, obulunzi nobuvubi saako okugatta omutindo ku birime biweereeddwa trillion 1 n’obuwumbi 800, songa ebyamasanyalaze bifunye trillion 1 n’obuwumbi 400.
Okusasula amabanja
Government era etaddewo trillion 1 n’obuwumbi 400 nga zino zigenda kusasula mabanja bannansi gebabanja government olwebyettunzi byebagiguza ku bbanja, nga amafuta, emmere, ensimbi zebizimbe government kwepangisa n’ebirala.
Minisita Kasaija alabudde nti kino government ekikoze okukendeeza ku mabanja bannansi gebabanja government nokukendeeza okulya amabanja amappya.
Parliament
Parliament efunye trillion 1 nobuwumbi 30 okuddukanya emirimu gyaayo mu mwaka gwebyensimbi ogujjaa ,songa nessiga eddamuzi lifunye obuwumbi 602.
Science and Technology
Government ekutte obuwumbi 835 nebuteeka mu bya science, tekinologiya n’okunonyereza, nga kuno kuliko obuwumbi 388 obugenze mu science ne tekinologiya nga mwemuli kampuni nga eya Mathias Magoola Dhei Pharma, Inspire Africa nendala government zezze ewa ensimbi.
ICT
Obuwumbi obulala 381 bugenze mu bya ICT n’okulungamya eggwanga mu by’empuliziganya n’amawulire, so nga obuwumbi 66 bugenze mu buyiiya obugwa mu Katemba ,okuyimba n’ebirala
Project z’enkulaakulana
Parish Development model government egyongedde trillion 1 nobuwumbi 59, Emiyooga obuwumbi 100, Uganda development bank trillion 1, Agricultural Credit facility obuwumbi 50, project ya GROW obuwumbi 231 nebirala.
Ku mbalirira eya Trillion 72 n’obuwumbi 376, government esuubira nti trillion 32 n’obuwumbi 75 egenda kuzeewola.
Trillion 2 nobuwumbi 745 zakuva mu bagabirizi b’obuyambi songa trillion 37 government esuubira okuzikungaanya okuva mu misolo.
Embalirira eno gavument egenda kugivujirira nebitundu 51.5% songa ebitundu 44.3% zakweewolebwa okuva munda .u Uganda nebweru w’eggwanga.
Trillion 27 n’obuwumbi 300 zigenda kusaasaanyizibwa okusasula amabanja Uganda gezze yeewola nga kuno kuliko trillion 9 ezokusasula amagoba ku mabanja.
Trillion 8 nekitundu government egenda kuzisaasaanya okusasula emisaala gy’abakozi baayo.
Minister Kasaija ategezezza nti June w’omwaka guno 2024/2025 wanagwerako, Uganda eggya kuba ebanjibwa trillion 116, wabula zino Uganda obusobozi obuzisasula ebulina bulungi.
Okusinziira ku minister Kasaija, embalirira y’omwaka ogujja 2025/2026 ekwaata ku buli munnansi era terina gwereka mabega.#