Ebitongole by’obwanakyewa ebikola ku by’emmere mu ggwanga biraze okutya ku mutindo gw’eby’emmere banaUganda gyebalya, so nga tewateereddwawo nkola nnungamu erwanyisa batunda mmere ewumbye mu Uganda.
Emyezi egiyisse wabaddewo embiranye mu basubuuzi abaali batwala obuwunga ne Kasooli mu ggwanga lya South Sudan, olwa government yaayo okubowa emmaali yabwe ng’egamva nti emmere eyo yali yabulabe eri obulamu bw’abantu babwe.
Abasuubuzi bekalakaasa nga bagamba nti ekyakolebwa southsudan kyali kikyamu, era baali balumiriza nti emmere yali ky mutindo ogusaanye, nebanenya government ya South Sudan okubafiiriza.
Ekitongole kya kya Uganda ekivunaanyizibwa ku by’omutindo ki Uganda National Bureau of Standards kyaddamu nekyekebeggya emmere eyo, nekifulumya alipoota eraga nti obuwunga ne kasooli ebiri mu bitereke ebiwerera ddala bitaano ebyali bitwalibwa e SouthSudan byali tebitukiridde na mutindo, era nga yali etandise okuwumba.
Agnes Kirabo akulira ekitongole ky’obwakyeewa ekirwanirira eby’emmere ekya Food Rights Alliance Uganda agambye nti kino kisaanye kiwe Government ya Uganda eky’okuyiga, eteeke amaanyi ku mmere eriibwa bannauganda, egenda okubaviirako endwadde enkambwe.
Agnes Kirabo era agambye nti ekitongole kya UNBS tekinafuna busoboozi bumala okukwasaganya omutindo gwa buli kimu mu ggwanga.
Dr Okia Okurut akulira ekitongole kya East Africa Climate Action Network agambye nti banaUganda bali mu bulabe nnyo singa ekitongole kya UNBS tekyongera kukola ebikwekwe
eto ku byuma by’obuwunga n’emmere endala, kubanga ebisinga tebitukanye na mutindo.
Ye David Livingstone Ebiru akulira ekitongole kya UNBS agamba nti banaUganda balina okukimanya nti omutindo gutandikira ku bbo, nga buli muntu akola kyasaanye okukola okukuuma emmere obulungi.
Agambye nti omutindo gutandikira mu nnimiro, amakungula, n’entereka, era nti emmere esinga obungi ewumba lwa ntereka mbi.y’agambye nti bagenda kwongera ebikwekweeto ku mutindo gw’eby’emmere
Bisakiddwa: Mukasa Dodovico