Okukozesa ebiwandiiko eby’obuyigirize ebijingirire, n’okujiingajinga emikono gy’abalonzi okusemba omuntu okwewandiisa eri akakiiko k’ebyokulonda, naddala ku bavuganya ku bifo by’ababaka ba parliament, byefuze okwemulugunya okwatwaliddwa eri akakiiko kano.
Nga 23 ne 24 October,2025 akakiiko k’ebyokulonda ka The Electoral Commission of Uganda lwe kaasunsula abavuganya ku bifo byobubaka bwa parliament.
Wabula oluvanyuma lwokusunsulamu, amateeka agafuga ebyokulonda mu ggwanga gawa ebeetu omuntu eyemulugunya ku muntu asunsuddwa, okwekubira omulanga eri akakiiko kebyokulonda bwaaba nga aliko ensonga zeyeekengera ezikwaata ku kusunsula kw’omuntu oyo.
Okuva okusunsulwa lwekwakomekerezebwa, akakiiko kebyokulonda kabadde kafuna okwemulugunya okwa, era kati katandise okuwuliriza abaatwalayo okwemulugunya okwo.
Omwogezi w’akakiiko k’ebyokulonda Julius Muchunguzi agambye nti bangi kubatwalayo okwemulugunya ku bantu abaasunsulwa, beesigama ku nsonga zobuyigirize bwaabo abasunsulwa nti ebiwandiiko byebaakozesa bijingirire, ebirala ssi byabwe
Julius Muchunguzi agambye nti okwemulugunya kuno, akakiiko k’ebyokulonda kagala okukuwuliriza kulolebwe mu bwangu, kisobozese enteekateeka eziddako ezokukubisa obukonge okutandika mu bwangu
Etteeka erifuga okulondebwa kw’ababaka ba parliament erya Parliamentary elections Act lisaawo obuyigirize obw’essalira bwa senior eyomukaaga eri abantu abagala okuvuganya ku bubaka bwa parliament.
Okumu ku kwemugulugunya okuli mu kakiiko kebyolonda okukwata ku kubuusabuusa kwobuyigirize bwaabo abeesimbyeewo kuliko okwatwalibwaayo Jeff Tumwebaze nga yemugulunya ku buyigirizi bwa muto wa President Museveni nga ye Aine Kaguta Ssodo, gwebalumiriza okujingirira ebiwandiiko ebyobuyigirize nga Ono yeesimbyewo ku kifo Kya Mawogola North
Okulala kwatwaliddwayo omubaka wa Lwemiyiga Theodore ssekikongo nga yemulugunya ku buyigirize bwa retired Brigadier Gen Rwashande eyesimbyewwo ku kifo kya Lwemiyaga.#












