Ministry y’eby’obulamu eyanjudde enteekateeka ey’okugema omusujja gw’ensiri eri abaana abatanaweza myaka etaano egy’obukulu.
Entegeka eno yeemu ku kaweefube ow’okukendeeza ku muwendo gwa bannayuganda abafa omusujja guno, n’ensimbi ezitokomokera mu kugujjanjaba.
Mu ntekakateeka eno ministry etandise n’okubangula bannamawulire mu musomo ogutegekeddwa ku Serena Hotel mu Kampala.
Dr.Richard Kabanda akulira ekitongole ekivunaanyizibwa mu kutumbula ebyobulamu n’okuziyiza endwadde agamba nti singa bannauganda banajjumbira emisomo gino, era nebateeka munkola okugemebwa kyakuyamba eggwanga okukendeeza ku musujja guno.
Okusomesa mu butongole kutandika omwezi gwa January omwaka ogujja 2024, ate okugema kwakutandika mwezi ogwokuna.
Bisakiddwa: Edithie Nabagereka