Ministry y’ebyobulamu erangiridde nti ekirwadde kya Ebola kibaluseewo mu Kampala.
Okusinziira ku muteesiteesi omukulu mu ministry y’ebyobulamu, Dr Diana Kanziira Atwine, agambye nti omusawo omu ow’emyaka 32 y’azuuliddwamu ebulwadde buno.
Omusawo ono yafudde era abadde ku ddaala ly’obwa Nurse era nga yasooka okufuna obujjanjabi mu ddwaliro lya Saidi Abubakar e Matugga, bweyavaayo naddukirako e Mbale, olwo embeera bweyatabuka naakomawo okufuna obujjanjabi e Mulago gyeyafiiridde.
Dr Diana Atwine agambye nti ekika kya Sudan Ebola kyebaazudde mu musawo ono, era abantu 44 bebaakazuulibwa nti baalinako akakwate n’omulwadde ono.
Ministry egamba nti ebadde eteekateeka okutandika ku nkola y’okugema obulwadde buno naddala mu basawo abali ku bwerinde.
Dr Diana Atwine mungeri yeemu agambye nti abeebyobulamu mu district ye Mbale nabo batereddwa ku nninga okulaba nti bateekawo enteekateeka ezizuula abalwadde naabo abaalinako akakwate n’omulwadde ono, ne district eziri ku nsalo ya Uganda zonna.
Obulwadde buno obwa Ebola, guno ssigwemulundi ogusoose okubalukawo mu Uganda, nga n’ogubadde gukyasembyeyo bwaliwo mu mwaka gwa 2022, era abantu 164 bebaakosebwa obulwadde, 0 142 baalina obulwadde ate 22 baali bateberezebwa.
Mu mwaka ogwo abantu 55 bebaafa abalala 87 nebajjanjabibwa nebawona, era ng’obulwadde kigambibwa nti bwava mu district ye Mubende.
Obulwadde bwalangirirwa nti buweddewo mu January womwaka 2023, era nga Uganda yafuna doozi 5,000 ezokugema abantu.
Bisakiddwa: Ddungu Davis