• Latest
  • Trending
  • All
Obukadde bwa shs 206 bukwasiddwa eddwaliro ly’e Nkozi – nga zezaava mu Kaliisoliiso dinner 2024

Obukadde bwa shs 206 bukwasiddwa eddwaliro ly’e Nkozi – nga zezaava mu Kaliisoliiso dinner 2024

December 11, 2024
Uganda Human Rights Commission eragidde police esattulule obubinja bwonna obukuuma bannabyabufuzi – bwabulabe eri ebyokwerinda by’eggwanga

Uganda Human Rights Commission eragidde police esattulule obubinja bwonna obukuuma bannabyabufuzi – bwabulabe eri ebyokwerinda by’eggwanga

December 4, 2025
President Museveni alabude abagala okutabangula eggwanga – yebazizza ab’e Kasese okuva mu by’okulwana enkulaakulana nekomawo mu kitundu

President Museveni alabude abagala okutabangula eggwanga – yebazizza ab’e Kasese okuva mu by’okulwana enkulaakulana nekomawo mu kitundu

December 4, 2025
Abantu 4 bafiiridde mu kabenje akagudde e Mubende abalala 20 bapooca – babadde bagenda kuziika

Abantu 2 bafiiridde mu kabenje e Kamuli – pikipiki eyingiiridde tulakita y’ebikajjo

December 4, 2025
Enkuuka Bwaguuga 2025 etongozeddwa ku Masengere – buli ekitegekeddwa Bwaguuga

Enkuuka Bwaguuga 2025 – mulimu okuwangula ebirabo bwaguuga

December 4, 2025
Police ekutte 2 abateeberezebwa okutemula omuyizi w’essomero lya Kitebi SS

Police enunudde abavubuka 47 e Nsangi – kigambibwa babadde basuubiziddwa emirimu gy’okukolera ku mutimbagano

December 4, 2025
KCCA etongozza okulwanyisa obubenje mu Kampala nga basomesa abagoba b’ebidduka okwewala okuvuga endiima – obutasukka 30km h

KCCA etongozza okulwanyisa obubenje mu Kampala nga basomesa abagoba b’ebidduka okwewala okuvuga endiima – obutasukka 30km h

December 3, 2025
President Museveni alonze abakulira kooti y’amagye abaggya – Brig Gen Tukachungurwa Richard ye mulamuzi omukulu owa kooti eno

Kkooti enkulu mu Kampala eramudde nti minister wébyettaka talina buyinza busazaamu byapya byéttaka

December 3, 2025
President Museveni alonze abakulira kooti y’amagye abaggya – Brig Gen Tukachungurwa Richard ye mulamuzi omukulu owa kooti eno

President Museveni alonze abakulira kooti y’amagye abaggya – Brig Gen Tukachungurwa Richard ye mulamuzi omukulu owa kooti eno

December 3, 2025
Auto Draft

Hajji Abby Mukiibi Nkaaga bamukoledde akabaga akamusiima olw’obuweereza n’obukozibwe

December 3, 2025
Parliament ya Uganda eyisizza embalirira y’ennyongereza eya 2025/2026 ya trillion 8 n’obuwumbi 104 – ezimu zissiddwa mu ntegeka y’okulwanyisa siriimu

Parliament ya Uganda eyisizza embalirira y’ennyongereza eya 2025/2026 ya trillion 8 n’obuwumbi 104 – ezimu zissiddwa mu ntegeka y’okulwanyisa siriimu

December 2, 2025
Auto Draft

Abakwatidde bendera ekibiina kya Democratic Front mu kalulu ka 2026 bakiise embuga – Katikkiro Mayiga alabudde bannabyabufuzi okwewala ebyobufuzi eby’okuwuddiisa abantu

December 2, 2025
Enkuuka Bwaguuga 2025 etongozeddwa ku Masengere – buli ekitegekeddwa Bwaguuga

Enkuuka Bwaguuga 2025 etongozeddwa ku Masengere – buli ekitegekeddwa Bwaguuga

December 2, 2025
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home CBS FM

Obukadde bwa shs 206 bukwasiddwa eddwaliro ly’e Nkozi – nga zezaava mu Kaliisoliiso dinner 2024

by Namubiru Juliet
December 11, 2024
in CBS FM
0 0
0
Obukadde bwa shs 206 bukwasiddwa eddwaliro ly’e Nkozi – nga zezaava mu Kaliisoliiso dinner 2024
0
SHARES
79
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Obwakabaka bwa Buganda okuyita mu Radio CBS buwaddeyo ensimbi obukadde bwa shs 206,325,000/= eri abaddukanya eddwaliro ly’e Nkozi nga zino zeezaava mu kyeggulo kya Kaliisoliiso eky’omwaka guno zikozesebwe okuzimba ekifo awanajjanjabiranga abagudde ku bubenje.

Katikkiro Charles Peter Mayiga y’akwasizza ab’eddwaliro ly’e Nkozi Cceke nga bakulembeddwamu Vicar General w’essaza ekkulu erya Kampala Msgr. Charles Kasibante abaddewo ku lwa Ssaabasumba Paul Ssemogerere.


Katikkiro yeebazizza nnyo Eklezia Katulika olw’obutafa ku bya mwoyo gwokka n’etunuulira n’ensonga endala ezigasiza awamu abantu, naddala okusoosowaza eby’obulamu ng’ezimba amalwaliro wonna okuwa abantu ba Katonda eby’omwoyo n’obujjanjabi.

Kamalabyonna yeebazizza nnyo abaddukanya CBS n’abaweereza ba Program Kaliisoliiso olw’obuyiiya obwabatuusa okutandika ekintu kino ekivuddemu omulimu ogunajjukirwa emirembe n’emirembe.


Ssentebe w’enteekateeka z’ekyeggulo kya Kaliisoliiso era omumyuka owookubiri owa Katikkiro munna Rotary Owek Robert Waggwa Nsibirwa agambye nti ku mulundi guno, waabaddewo okweyongera mu bujjumbize nga kyalabikidde ku nsimbi ezaaweereddwayo nga zaasinze ku z’omwaka koguwedde n’ebitundu 16% bwatyo neyeebaza nnyo abaayambye mu nsonga eno.

Owek. Nsibirwa agambye nti kino kiraga nti abantu ba Kabaka baategeera bulungi Ssemasonga ey’okuna ey’okukola obutaweera n’eyokutaano ey’okunyweza obumu.


Omumyuka wa Ssentebe wa Bboodi ya CBS Omuk David Baalaaka ku lwa CBS yeeyamye nti Radio ya Kabaka tejja kussa mukono okutuusa nga ekyatandikwa kigguse kubanga kino kisimbira ddala mu miramwa egyatandisaawo Radio CBS.

Ategeezezza nti ensimbi eziweereddwayo zeyongeddeko obungi okiva ku bukadde 173 ezaasondebwa mu 2023 okulinnya ku bukadde 206 ez’omwaka 2024.


Msgr. Charles Kasibante ku lwa Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala yeeyanzizza nnyo Ssaabasajja olwa Radio CBS olw’enkolagana ennungi n’Eklezia Katulika mu kuweereza abantu ba Katonda.

Msgr. Kasibante agambye nti amalwaliro ga Eklezia tegasosola muntu yenna era buli agendayo aweebwa obujjanjabi awatali kutunuulira ddiini, oba ekintu ekirala kyonna.

Yeebazizza nnyo olw’obuyambi buno n’ategeeza nti kino kibayambye nnyoo okubasitulirako kubanga obuyambi Eklezia bwebadde efuna okuva mu mawanga amalala bwakendeera.

Bannamikago okuli aba Centenary Bank, I&M ne banna Rotary beesowolayo bukuukuubira okukwasizaako CBS ku mulimu guno okutuusa nga guwedde.


Ku lwa bannamikago bano, ssenkulu wa Centenary Bank Omuk. Fabian Kasi agambye nti baakuwaayo ensimbi okudduukirira omulimu guno okutuusa nga gutuuse weguteekeddwa okubeera.

Omuk. Kasi agambye nti baakiraba nga bateekeddwa okwegatta ku nteekateeka eno kubanga beetaaga abantu abalamu okutereka mu Bank.


Aba Rotary mu nteekateeka eno beeyama okussa ebyuma byonna mu ddwaliro lino okuyamba okujjanjaba abantu abagwa ku bubenje naddala ku luguudo lw’e Masaka olugambibwa nti lwerumu ku nguudo okusinga okugwa obubenje.

Abaweereza ba Program Kaliisoliiso okuli Hajji Abbey Mukiibi, Hajji Abu Kawenja, Peace Diane Baagala ne Rajab Kanaakulya bebasaale mu kyeggulo kino nga guno gwemulundi ogw’okusatu ng’ensimbi eziva mu kyeggulo kya Kaliisoliiso ziweebwayo ku mulimu gw’eddwaliro ly’e Nkozi.

Kirangiriddwa nti Ekyeggulo kya Kaliisoliiso eky’omwaka ogujja 2025 kinaabaawo nga 3 October mu Hotel Africana.

Omukolo guno oguyindidde mu Bulange e Mengo gwetabiddwako Ssenkulu wa CBS Omuk. Michael Kawooya Mwebe, Omuk. Robert Kasozi avunaanyizibwa ku nzirukanya y’emirimu ku CBS, munnamateeka wa CBS Vivian Namale, banna Rotary n’abalala.

Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Uganda Human Rights Commission eragidde police esattulule obubinja bwonna obukuuma bannabyabufuzi – bwabulabe eri ebyokwerinda by’eggwanga
  • President Museveni alabude abagala okutabangula eggwanga – yebazizza ab’e Kasese okuva mu by’okulwana enkulaakulana nekomawo mu kitundu
  • Abantu 2 bafiiridde mu kabenje e Kamuli – pikipiki eyingiiridde tulakita y’ebikajjo
  • Enkuuka Bwaguuga 2025 – mulimu okuwangula ebirabo bwaguuga
  • Police enunudde abavubuka 47 e Nsangi – kigambibwa babadde basuubiziddwa emirimu gy’okukolera ku mutimbagano

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist