Enteekateeka eno olwaleero nga 24 April,2025 etandika naabo abaagala okwesimbawo kubukulembeze ku mutendera gw’ebyalo.
Baweereddwa wakati wa 24 – 30th April,2025 okuggyayo empapula n’okuzizaayo.
Emmanuel Dombo Omwogezi w’eggwandiisizo lya NRM alabudde bannaNRM okugondera okulambika okwakolebwa ekibiina okwewala akavuyo mu nteekateeka eno.
Okunoonya akalulu kabannaNRM bano ku byalo kwakubaawo ng’ennaku z’omwezi 01 okutuusa nga 5 May, 2025, olwo okulonda kubeewo ng’ennaku zomwezi 6 omwezi gwe gumu.
NRM okuteekateeka okulonda kwabakulembeze baayo ku byaalo naabo abanaagikwatira bendera mu kalulu akaggya, kujjidde mu kiseera nga government, NRM gyekulembera ekyalemeddwa okufuna ensimbi eziteekateeka okulonda kwaba ssentebbe bebyaalo mu government.
Okulonda kuno kwalina okubaawo mu July, 2023 ekisanja kyabwe lwekyagwako, wabula government yabulwa ensimbi eziri eyo mu buwumbi 30 okuteekateeka okulonda kuno.
Ekisanja kyaba ssentebbe bebyalo, abemiruka wamu n,obukiiko bw’abakyaala kuzze kwongezebwayo, ng’ekyasembyeeyo government yalangiridde nti okulonda kuno kuggya kubaayo wamu n’akalulu ka bonna aka 2026.
Wabula ensimbi ezinateekateeka okulonda kw’obukiiko obwo era tezaatereddwa mu mbalirira y’akakiiko k’ebyokulonda ey’omwaka gw’ebyensimbi 2025 /2026.
Emmanuel Dombo agambye nti NRM ng’ekibiina yakola entegeka yaayo nefuna ensimbi eziteekateeka okulonda kw’abakulembeze b’ekibiina ku byalo, nga bweyetegekera kulonda okuddako okweggwanga lyonna.#