Olukungaana lw’amawanga ga nnampawengwa olwa NAM ( Non Aligned Movement) olw’omulundi ogwe 19 lukomekkerezeddwa oluvannyuma lw’ennaku 6 zerumaze nga luyindira ku Speke hotel e Munyonyo mu Kampala Uganda.
President wa Uganda Yoweri Kaguta Museven akwasiddwa obwassentebe bw’okukubiriza enteekateeka z’omukago guno okumala emyaka 3.
Mu lukungaana luno, omukago gukubye tooki mu byakanyizibwako mu lutuula olwe 18 olwayindira mu kibuga Baku ekya Azerbaijan, nga 25 – 26 October,2019, n’okwekennenya ensonga endala mu kiseera kino ezirina okussibwako essira ezikosa amawanga ga Nnamukago n’ensi yonna okutwalira awamu.
Omukago gusazeewo okwongera ensimbi mu nteekateeka z’okukuuma emirembe n’okuzimba obwa sseruganda.
Omukago gusiimye enteekateeka z’ekibiina ky’amawanga amagatte ez’okuwaayo ensimbi dollah za America obukadde $50 buli mwaka, eri ensawo y’okukuuma emirembe okutandika nga 06 January,2025.
Mulimu okuwaayo ebikozesebwa, ensimbi, amagye ne police okuva mu mawanga ag’enjawulo.
NAM evumiridde Isreal olw’okugenda mu maaso n’entegeka z’okwezza ebimu ku bitundu bya Palestine ne bya Syria mu kitundu ekye Golan, era neguyisa ekiteeka nti wabeewo ekikolebwa mu bwangu olutalo oluyindira e Gaza nga terunafuuka lwabulabe eri ensi yonna mu kutabangula emirembe n’ebyenfuna.
Guwagidde ekya Isreal okwamuka ekitundu ky’obuvanjuba bwa Jerusalem kifuuke ekibuga ekikulu ekya Palestine.
Guvimiridde ekya Isreal okukola ennumba mu luwanaanda lw’e Gaza ne West bank, n’esuula ebikompola ku malwaliro,amasomero, n’enkambi z’ababundabunda omufiiridde ba ssaalumanya naddala abakyala n’abaana.
NAM eyagala Palastine ekakasibwe ng’eggwanga eryetongodde era lifuuke memba omujjuvu mu kibiina ky’amawanga amagatte.
President wa UN General Assembly H.E Dennis Francis, agambye nti bakyagenda mu maaso okwekeneenya olutalo oluli mu Gaza, nti naye obuyinza obwenkomeredde okusalawo ku kuyimiriza olutalo luno buli mu kakiiko ka UN Security Council.
Dennis Francis agambye nti olutalo luno terulina Kalungi kerugenda kuvaamu, nti kubanga tewali agenda kuvaayo nga muwanguzi okugyako okusanyaawo amawanga gabwe, bwatyo naasaba abalwanagana okussa wansi emmundu.
Omukago era gusuubizza okubaawo ekikolebwa ku nsonga y’abantu ababundabunda balabirirwe bulungi ng’amateeka bwegalagira, n’okuziyiza ekikukusa bantu ekyeyongera munsi yonna.
Obwavu obukudde ejjembe, okutaagulwa kw’obutonde bw’ensi nabyo bissidddwako essira, ng’omukago gwakutema empenda ezongera ensimbi mu bintu ebigasiza awamu abantu, amasannyalaze g’amaanyi g’enjuba agali ku bbeeyi eya wansi n’ebirala.
President wa Uganda era ssentebe w’omukago abuulidde abakulembeeze b’amawanga mu mukago gwa NAM, nti amawanga gonna 120 galowooze ku ky’okuggulawo obutale bwago eri ganaago agali mu mukago, nti kye kimu ekigenda okugayamba naddala agakyakula, galeme kwesigama kukusabiriza buyambi.#
NAM kye ki?
Omukago gwa NAM gulimu amawanga 120, era nga gano galimu abantu ebiweza ebitundu 55% ebya bantu bonna abali ku nsi kuno.
NAM mukago ogwatandikibwawo mu 1961 okutaba amawanga ga Nnaampawengwa agaalina endowooza nti ensi yali yeyawuddemu ebiwayi bibiri, ngekimu kyali kiwagira Amerika ne banywanyi baayo ba Nasiwa mu kange awamu nabo abaali bekubidde ku ludda olwali lukulemberwa Russia olwalina enkola eya ba Nakalyakaani
Embeera eno yeyasinga okuleetera amawanga agamu agaali tegaagala kulaga ludda, okwegattira mu mukago gwa NAM.
Olutalo wakati wa North Korea ne Soouth Korea nalwo lwaviirako amawanga okwongera okweyawulamu, nga North Korea ewagirwa oludda lwa ba Nakalyakaani ate nga South Korea ewagirwa mawanga aga Nasiwamukange.
Amawanga agaakulemberamu NAM okussibwa mu nkola mwemwali India eyali ekulemberwa Jawaharl Nehru, Egypt eyali ekulemberwa Gamal Abdel Nasser, Ghana eyali ekulemberwa Kwame Nkrumah, Yugoslavia olukiiko olwasooka gyelwatuula nga yali ekulemberwa Field Marshal Josip Broz Tito ne Indonesai eyali ekulemberwa Sukarno.
Wabula emyaka bwegigenze giyita, amawanga mangi nga mwemuli ne Uganda, gagenze gegatta ku mukago guno, n’okusingira ddala agavumirira enkola za America ne Russia.
Eggwanga nga Cuba waliwo lweryalemererwa okuvumirira Russia olw’ okulumba Afghanistan, nga kino kyaletera ba memba ba NAM abalala okusazaamu Cuba okukyaza olukiiko olwatuula mu 1979.
Wabula ensangi zino NAM ezze eyisa ebiteeso ebivumirira enkola za Amerika ne banywanyi baayo, nga mwemuli ekya NAM okwagala enkyuukakyuka zikolebwe mu bitongole nga ekya Banka ye Nsi yonna(World Bank) awamu n’ekivunaanyizibwa mu kulondoola ebyenfuna bye nsi (International Monetary Fund), wabula ku nsonga ng’ezivumirira obutujju awo bonna bogera olulimi lwe lwemu.
Omukago gwa NAM gwasaawo obukiiko obwenjawulo obwetongodde obulondoola ensonga ez’enkizo mu nsi, ng’e nsonga eza Palestine, Somalia, enoongosereza mu kibiina kya mawanga amagatte ne nsonga endala nyingi ezigulumbya ensi.#